Engeri Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo:
Okuyiga n'obwegendereza
Okulowooza n'obwegendereza yengeri y'okusalawo
nobwegendereza ate nobumalirivu ku kintu kyetugenda okola.
Amakubo mukulowooza n'okuyiga
n'obwegendereza
Webuuze ebibuuzo bino wammanga:
- Omulamwa guluwa?"
- Omuwandiisi akomekerezza atya ku mulamwa?"
- Omuwandiisi awadde nsonga ki alyoke asalewo ku kyawandiika?"
- Wegendereze kuba oyinza okusalawo obubi okugeza nga oyita
mu kutya, okwesasira, okweyambisa obubi ebyo kwosinziira okusalawo.
- Omuwandiisi yeyambisizza ebyo ebituufu mukusalawo kwe.
- Ekituufu kyangu okuzuulwa
- Ebirowoozo sibyangu kutugerekeka butuufu bwabyo naye
nga biyinza okuba ebituufu oba ebikyamu.
- Omuwandiisi akozesezza lulimi ki. Okugeza alaze nnyo nti
kyayogerako kiva mutima era akisimbyeko nnyo amanyo oba nedda?
- Abasoma n'obwegendereza betaaga okusussa olulimi luno
amaso basobore okumanya oba ensonga ntuufu.
Bino byebimu kwotegerera abo
abalowooza n'obwegendereza.
- Bamanyi bulungi obwomuntu bwabwe, tebatera kwerimba.
- Sibangu bakozebwa bantu balala balina bigendererwa ebikyamu.
- Kizibu okubabuzabuza.
- Babuuza ebibuuzo.
- Okusalawo kwabwe bakwesigamya ku kituufu kyebamanyi.
- Batera okufanaganya byebayiga bwebatyo nebazuula biki ebibigatta
awamu.
- Mumagezi basobola okwetengerera.
Ekiddirira