Engeri Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo:
Okuyiga n' okozesa obulungi ebiseera
Okozesa obulungi ebiseera kwekutegeka n'okugoberera
ebiseera byo by'oba opimye mukuyiga osobole okutukiriza ebigendererwa
byo wadde nga waliwo obuvunanyibwa obulala nga amaka n'ebirala.
Amakubo mukino:
- Londoola enkozesa yebiseera byo.
- Lowooza ku ngeri gyokozesa mu obudde bwo.
- Zuula mangu obubonero obulaga nti otandise okwonoona ebiseera
byo.
- Manya ddi lwoba oganyulwa mu biseera byo.
Okumananya enkozesa y'ebiseera byo kikuyamba okugerageranya
ddi lwonomala emirimu gyo egy'okuyiga.
- Wandiika wansi ebyo by' onokola kikuyambe okumanyi kiki ekinakolebwa
leero, enkya oba mubiseera eby'omaso oba ebyo by' onetaagamu obuyambi
okuva mu banno.
- Pima obudde nebyokkola buli lunaku nebuli wiiki. Wandika wansi
abo bonosisinkana, byonosoma nebirala. Manya ki ekinaddako
buli ddakiika ate togenda kwebaka nga tonamanya kyonakola nkeera.
- Wandika wansi ebyo byoyagala okkola mu maaso. Lamba ku
kalendaliyo ekyo kikuyambe okugerageranya obudde bwo obweddembe.
Okutegeka okulungi okw' ebiseera by'okuyiga:
- Funa otulo otumala, lya bulungi ate wegayazemu oba okugenda
nga kumizannyo nga egyo.
- Sengeka emirimu okuva ku gusinga obukulu paka ku gusembayo.
- Wetegekere ekibiina nga bukyali nga oyisaamu mu by'onosoma.
- Tegeka wo obudde oyise mu byosomye mu kibiina nga wakkiavamu
;
Jukira nti okwelabira kutera kubaawo oluvanyuma lw' essawa
abiri mu nnya(24).
- Tekegeka eddakiika ataano ataano ez' okuyiga.
- Somera wotataganyizibwe.
- Gezako okozesa ebiseera by' oyonoona.
- Singa kutegeka kusomera mu budde bwa misana.
- Tegeka wo okuyisa mu by'osomye ku nkomerero ya week. Schedule
a weekly review
- Wegendereze tofuuka omuddu wentegeka yo, anti nga tekuwa mirembe.
Genda ku
Okutegeka ebigendererwa/n'ebiseera
Ekiddirira