Kiosk: ebiragiro by’okusoma

Engeri Y'okuyiga N'obukodyo Bwakwo:

Endwadde y'obukoowu n'okwetamwa

Ekisooka olina okuyiga okuzuula endwadde eno singa oba nayo:

Obubonero bwayo bweyorekera mubulamu bwo bwonna (omubiri, ebilowoozo nebirala). Oyinza okulumwa omutwe, obutayagala oba okwagala ennyo okulya, obutafuna tulo, okwebaka n'ossussa nebirala. Okwagala okwewonya ennaku eno oyinza okutandika okunywa omwenge, enjaga nemize emirala emibi. Oluusi oyinza n'okwekyawa oba okwetamwa.

Endwadde eno singa ogifuna nga ekuganyi okusoma webuuze ku bakugu mu kuwa amagezi ku kuyiga ku somero lyo.

Okufuga endadde eno y'engeri y'okusobola okusigala mu mitambo wadde nga waliwo ebintu bingi bi ebitakuweeza. Kiki kyoyinza okola okulwanyisa endwedde eno? Bukodyo ki bwoyinza okweyamba.

  • Wekubekube olabe
    oba waliwo kyoyinza okukyusako oba ekiri mubusobozi bwo okufuga
  • Tobugutana kwata mpola okole ekyo kyosobola kamu kamu gwemuganda. Sooka nebikulu.
  • Bulijjo lowoolereza mubuwanguzi. Laba ngeri ki entuufu gyonobikwataganya mu okusinga okwevuma omugugu gwewetisse. Ate mu biseera ebizibu nga bino kasita bitayiririra oyinza n'oganyulwa mu kuba obwongo bweyongera mu kujjukira. Eddwadde eno eretera sukaali oba gulukosi mumusaayi okweyongera nekiyamba omubiri okweyongera amanyi. Kino olwo kikuyamba mukujjukira. Wabula ate bwekiyitirira obwongo muyinza okosebwa notandika nokwerabira ennyo.
    Byagibwa mu lupapula St. Paul Pioneer Press Dispatch p. 8B, Monday, November 30, 1998, omutwe : All Stressed Up
  • Bwoba olemeddwa obulwanyisa gezaako okubufuulwa mukwano gwo nga obukozesa mungeri ekuzimba:
  • Kyusa ku ngeri gyokwatamu ebikusumbuwa naye era tobifubutukira kwata ekintu kimu kimu ekikusumbuwa olabe oba osobola okwefuga nga kikutuuseko.
  • Kendeeza
    ebintu byokola osanga onejjako omugugu ogukumenya noddawo.
  • Kyuusa endowoza yo ku bintu byosanga:
    Zzuula mangu endwadde eno ey'obukoowu n'okwetamwa era omubiri gwo gugimanyiire ereme kuwa buzibu busukkiridde. .
  • Ekikulu ku ndwadde eno ba mugumu ate lwana nayo.
  • Wewale ebikolwa ebisukiridde nga waliwo ekikutuuse ko. Kwata mpola. Okugeza bwoba n'enaku leka ate kwagala kwetta bwesi.
  • Tekawo ebigendererwa byosobola ate wewummuzemu mu.
  • Ebigenderewa byo bisengeke osooke n'ebikulu naye toganya buntu omutali ate kukwelalikira nnyo.
  • Tewelabira okulwanyisa obulwadde buno nga ozanya ku mizanyo omubiri gweyagale
  • Funa otulo otumala kuba bwotakikole endwadde eyo ejja kweyongera bweyongezi.
  • Baako kyokolera abalala omutima gwo ogugye ku kizibu kyo kijja kuyambako okuwona.

Gezako okubeera ewala nembera enekulete endadde eno okweyongera.

  • Tonywa njaga oba ebitamiza wewonye bijja kubikkira bubikkirizi naye nga towonye.
  • Yiga okwegayaza
  • Bwoba olemeddwa okusoma olwendadde eno tukirira abakugu mukuwa amagezi kubyensoma mu somero lyo.
Endwadde y'obukoowu n'okwetamwa mu bigezo.

Okuguma mu bizibu-wegezese olabe: Olwanyisa otya endwadde eno. Bya: Body-Mind QueenDom

Ekiddirira

Okweyigiriza okuyiga | Okusomera awamu | Okulowooza mungeri ey'ekikugu |
Okulowoza mungeri ey'amagezi | Okwejjukanya | Engeri ennungi oy'okuyiga |
Okwefananyiriza kukuyiga | Okwewala obugayaavu'ndikikola luli' |
Okusengeka obulungi bye oyiga naddala emirimu eminene |
Okukozesa obulungi obudde bwo | Okulwanyisamu obukowu n'okwetamwa |
Okuba n'ebigendererwa n'okwepimira ebiseera